Job 1:9-11

9 aSetaani n’addamu Mukama Katonda nti, “Ekitiibwa akussaamu kya bwereere? 10 bTomukozeeko lukomera ye n’ennyumba ye, n’eby’obugagga by’alina? Buli ky’akola okiwadde omukisa; n’eby’obugagga bye byeyongedde nnyo obungi! 11 cKale geza okwate ku by’alina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga n’ensi yonna eraba!”
Copyright information for LugEEEE